Matthew 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka obw'omu ggulu; naye bali tekyabaweebwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaddamu n'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu naye bo tebaweereddwa.