Matthew 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya kye yalanga kituukiridde bulungi ku bo, bwe yagamba nti: “ ‘Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera; n'okulaba muliraba, naye temulyetegereza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti, “ ‘Muliwulira naye temulitegeera n’okulaba muliraba naye temulimanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti,” “ ‘Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera;’” “ ‘Muliraba bulabi, naye temulyetegereza.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omulanzi Yisaaya kye yalanga, kituukirira ku bo, ekigamba nti: ‘Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo muliraba, naye temulyetegereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera; Muliraba bulabi, naye temulyetegereza: