Matthew 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibuwaliddwa okuwulira, n'amaaso gaabwe bagazibirizza; baleme kulaba n'amaaso gaabwe, na kuwulira n'amatu gaabwe, baleme na kutegeera na mutima gwabwe, ne badda ne mbawonya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omutima gw’abantu bano gwesibye, n’amatu gaabwe tegawulira bulungi. N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu, wadde omutima gwabwe okutegeera, ne bakyuka ne mbawonya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“‘Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde,’” “ ‘N'amatu gaabwe gawulira bubi,’” “ ‘N'amaaso gaabwe bagazibye;’” “ ‘Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu,’” “‘N'okutegeera n'omutima,’” “‘N'okukyuka,’” “‘Ne mbawonya.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibikidde, n'amaaso gaabwe bagazibirizza. Sikulwa nga balaba n'amaaso, nga bategeera n'omutima, era nga bakyuka ne mbawonya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe gawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima, N'okukyuka, Ne mbawonya.