Matthew 13:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti bangi abalanzi n'abantu abatuukirivu beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“‘Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti abalanzi bangi n'abantu abalungi beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.