Matthew 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli awulira ekigambo ky'obwakabaka n'atakitegeera, omubi ajja n'akwakkula ekisigiddwa mu mutima gwe; oyo ye nsigo eyagwa ku kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abawulira ekigambo ekifa ku Bwakabaka ne batakitegeera, ze nsigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Omubi ajja n'anyaga ekisigiddwa mu mitima gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu nutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.