Matthew 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina binene ne bimukuŋŋaanirako, ye kwe kusaabala mu lyato n'atuula omwo, ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali. Kyeyava asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo, ekibiina ky'abantu kyonna ne kiyimirira ku lubalama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku ttale.