Matthew 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka talina mu ye mirandira, abeerawo akabanga katono; naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, yeesittala mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye olw'okuba talina mmizi munda mu ye, bw'alwawo akaseera katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, balwawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye talina mmizi munda mu ye, naye, alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n’okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.