Matthew 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate eyasigibwa mu maggwa, y'oyo awulira ekigambo, naye nno okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, bituga ekigambo ne kitabala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwa eby'obugagga bizisa ekigambo, n'ekitabala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala.