Matthew 13:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaleetera n'olugero olulala: n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyirizibwa omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaleetera olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye: