Matthew 13:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baali beebase, omulabe we n'ajja, n'amansa zizaniya mu ŋŋano, n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abantu bwe baali nga beebase, omulabe we n'ajja, n'asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana nga yo, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda.