Matthew 13:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba nnannyinimu ne bajja, ne bamugamba nti: ‘Ssebo, mu nnimiro tewasigamu nsigo nnungi, ate erina etya zizaniya?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti: ‘Ssebo, ensigo ennungi si gye wasiga mu nnimiro yo? Kale omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano gwava wa?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko?