Matthew 13:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: ‘Nedda; kubanga mu kukuŋŋaanyaamu zizaniya, mwandikuuliramu n'eŋŋano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'agamba nti, ‘Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukoolamu omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, muyinza okukuuliramu n'eŋŋaano yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini.