Matthew 13:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke byombi bikulire wamu okutuusa ku makungula. Kale nno ku makungula, ndigamba abakunguzi nti: “Musooke mukuŋŋaanyeemu zizaniya, mugisibe ebinywa, egende eyokebwe; yo eŋŋano mugikuŋŋaanyize mu byagi byange.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muleke bikule byombi bituuse amakungula; mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe, naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleke byombi bikulire wamu okutuuka amakungula. Mu kiseera eky'amakungula, ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe ebinywa gwokebwe, naye eŋŋaano mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.