Matthew 13:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'empeke ya kaladaali, omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasiga mu nnimiro ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye: