Matthew 13:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weewaawo ntono okusinga ensigo zonna, naye bw'ekula eba mpanvu okusinga emiddo gyonna, efuuka muti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bijja ne bisula mu matabi gaagwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
akasigo kano ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kakula, kaba kanene okusinga ebimera byonna, ne kavaamu omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne zijja, ne zibeera ku matabi gaagwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna. Naye bwe kamera ne kakula, kaba kanene okusinga ebimera eby'enva ebirala byonna. Ne kavaamu omuti, ebinyonyi ne bijja, ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nako nga ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kaakula, ne kaba kanene okusinga omuddo gwonna, ne kaba omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga nga zijja, nga zibeera ku matabi gaagwo.