Matthew 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaleetera n'olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekizimbulukusa omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu, okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba olugero olulala nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaleetera olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagerera olugero olulala nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.