Matthew 13:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi kye yayogera kituukirire nti: “Nzija kwasamya akamwa kange mu ngero; ndyatula ebyakisibwa okuva ensi lwe yabangibwawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti, “Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti, Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakolanga ekyo okutuukiriza omulanzi kye yayogera, ekigamba nti: “Ndyogera mu ngero; ndyatula ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.