Matthew 13:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'asiibula ekibiina, n'ayingira mu nnyumba; abayigirizwa be ne basembera w'ali ne bamugamba nti: “Tuvvuunule olugero lwa zizaniya ey'omu nnimiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omunsiko eyali mu nnimiro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'asiibula ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero lw'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ogwali mu nnimiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju: abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omu nsiko eyali mu nnimiro.