Matthew 13:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekyobugagga ekikusike mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, akikweka; ate olw'essanyu, agenda n'atunda byonna by'aba nabyo, n'agula ennimiro eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu kyeyalaba, n'akikweka; era olw'essanyu n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, n'akikweka, era olw'essanyu erimukutte, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'agula ennimiro eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.