Matthew 13:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekiragala ekisuulibwa mu nnyanja, ne kikukumbiriza ebyennyanja ebya buli ngeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebya buli ngeri: