Matthew 13:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe guliba gutyo ne ku nkomerero y'emirembe; bamalayika balijja ne baawula ababi mu batuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi, bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Bamalayika balijja ne baawula abantu ababi mu balungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,