Matthew 13:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Awo nno buli muwandiisi atendekeddwa mu by'obwakabaka obw'omu ggulu afaanana nga nnannyinimu aggya mu tterekero lye ebiggya n'ebikadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Kale nno buli munnyonnyozi w'amateeka afuuse omuyigirizwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, afaanaanyirizibwa n'omuntu alina ennyumba ye: aggya mu kisenge mw'atereka, ebintu ebiggya n'ebikadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.