Matthew 13:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ajja mu nsi yaboobwe, nabayigiriza mu sinaagooga zaabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa amagezi gati, n'ebikolwa bino eby'amaanyi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ajja mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono amagezi gano yagaggya wa, n'eby'amaanyi by'akola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?