Matthew 13:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamwesittalako. Naye Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa, wabula mu kyalo kyaboobwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamukwatirwa obuggya. Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.