Matthew 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gaduuma, ne gazifuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensigo endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaakula, ne gazitta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endala ne zigwa ku maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa: