Matthew 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zissaako ebirimba: ekimu nga kirimu kikumi, ekirala nkaaga n'ekirala asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensigo endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi (100), endala nkaaga (60), endala asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo kikumi; ebirala, ensigo nkaaga, n'ebirala, ensigo amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi, endala nkaaga, endala makumi asatu