Matthew 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be ne bajja, ne batwala omulambo ne baguziika; ne bagenda ne babuulira Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ba Yokaana ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa ba Yowanne ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne baguziika. Ne bagenda ne babuulira Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa be ne bajja, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.