Matthew 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira ebyo, eyo n'avaayo mu lyato, n'agenda mu kifo eky'esuddeko ebbali yekka. Naye ebibiina bwe byawulira, abantu ne bamugoberera ku bigere nga bava mu bibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Yesu bwe yawulira ebyo, n'aviirayo mu lyato, n'agenda kyama mu kifo eky'eddungu; ebibiina by'abantu bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yawulira ebyo, n'ava mu kifo ekyo, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kifo eky'eddungu, asobole okuba yekka. Abantu bangi bwe baamanya, ne bava mu bibuga ne bamugoberera, nga bayita ku lukalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Yesu bwe yawulira, n'aviirayo mu lyato, n'agenda awali eddungu kyama: ebibiina bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.