Matthew 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde n'obudde buyise; siibula ekibiina abantu bagende mu bibuga beegulireyo emmere gye banaalya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Wano ddungu, ate n'obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buwungedde. Abantu basiibule, bagende beegulire emmere mu bubuga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bagamba nti Wano ddungu, obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere.