Matthew 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba abaweereza be nti: “Ono ye Yowanna Batista; azuukidde mu bafu, amaanyi ago kyegava gakola mu ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba abaddu be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba basajja be nti: “Ono ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba abaddu be nti Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.