Matthew 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'ayambuka ku lusozi n'abeera eyo yekka nga yeegayirira. Obudde ne buwungeera ng'akyali eyo yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba; obudde ne buwungeera, nga Yesu aliyo bw'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okusiibula abantu, n'ayambuka ku lusozi yekka okusinza Katonda. Obudde ne buwungeera nga Yesu ali eyo yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba: obudde bwe bwawungeera, yaliyo bw'omu.