Matthew 14:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lyo eryato kati lyali sitadiyo nnyingi okuva ku lukalu, amayengo nga galisunda, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa baali mu lyato ku nnyanja, eryato nga lisundibwa amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwabafuluma mu maaso.