Matthew 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beesisiwala, ne bagamba nti: “Ogwo muzimu!” ne bawowoggana olw'okutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti, “Dayimooni!” Ne baleekaana olw'okutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti: “Omuzimu!” Ne baleekaana olw'okutya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beeraliikirira, ne bagamba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya.