Matthew 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yalaba empewo nga nnyingi, n'atya; n'atandika okukka; n'aleekaana ng'agamba nti: “Mukama, mponya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yalaba omuyaga, n'atya. N'atandika okukka mu mazzi, n'aleekaana nti: “Mukama wange, mponya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola.