Matthew 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olunaku olw'amazaalibwa ga Erode bwe lwatuuka, muwala wa Erodiya n'azina mu ddiiro, n'asanyusa Erode.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe lwatuuka olunaku olw'okujjukirirako amazaalibwa ga Kerode, muwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lw'amazaalibwa ga Herode, muwala wa Herodiya n'azina mu maaso ga bonna. Herode n'asanyuka
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe lwatuuka olw'okujjukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode.