Matthew 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erode n'atuuka n'okumusuubiza nga bw'alayira nti ajja kumuwa kyonna ky'anaasaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode n'asuubiza n'ekirayiro okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alayira n'okulayira, n'amusuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaamusaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alayira n'asuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba.