Matthew 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'afukuutiriddwa nnyina, n'agamba nti: “Mpa wano kati omutwe gwa Yowanna Batista ku ssowaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'apikirizibwa nnyina, omuwala, n'agamba nti, “Mpeera wano ku lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala n'akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, n'agamba nti: “Mpa omutwe gwa Yowanne Omubatiza nga guteekeddwa wano ku ssowaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, bwe yaweererwa nnyina, n'agamba nti Mpeera wano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.