Matthew 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'anakuwala. Naye olw'okubeera ebirayiro bye yali alayidde n'olw'okubeera abagenyi be, n'alagira gumuweebwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'anakuwala nnyo, kyokka olw'okubanga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'alagira gumuweebwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa;