Matthew 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukazi Omukanaani okuva erudda eyo, n'ajja, n'akoowoola ng'agamba nti: “Nsaasira, Mukama, Omwana wa Dawudi; muwala wange ajoonyesebwa nnyo omwoyo omubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja gy'ali n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava ku mbibi eyo, n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Onsaasire Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.