Matthew 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'atamunyega kigambo. Abayigirizwa be ne basembera ne bamwegayirira nga bagamba nti: “Mugobe; ajja atuleekaanira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti, “Musiibule; kubanga ajja atuleekaanira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti Musiibule; kubanga atuleekaanira emabega.