Matthew 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa zirya obukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baazo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukazi n'agamba nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n'obubwa bulya ku bukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.