Matthew 15:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ayanukula nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo nga kunene! Kale kikukolerwe nga bw'oyagala.” Amangu ago omuwala n'awona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti, “Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene! Kibeere gy'oli nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.