Matthew 15:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ava awo, n'ayitira ku nnyanja y'e Galilaaya. N'ayambuka mu nsozi, n'atuula eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'avaayo, n'ajja ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'avaayo, n'ajja ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.