Matthew 15:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina binene ne bijja w'ali nga baleese abalema, abagongobavu, bamuzibe, bakasiru, n'abalala bangi. Ne babassa ku bigere bye n'abawonya;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya: