Matthew 15:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebibiina ne byewuunya ng'abantu balaba bakasiru bayogera, abagongobavu nga bazzeewo, abalema nga batambula, ne bamuzibe nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba; ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.