Matthew 15:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ayita abayigirizwa be w'ali, n'abagamba nti: “Ekibiina kino kinkwasa ekisa; kubanga babadde nange kati ennaku ssatu, ate nga tebalina kye balya. Saagala kubasiibula njala, sikulwa nga bagwa ku kkubo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Nsaasira abantu, kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya, n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, mpozzi banaazirikira mu kkubo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'agamba nti Nsaasira abantu kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya: n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, wozzi banaazirikira mu kkubo.