Matthew 15:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Tunaggya wa mu ddungu muno emigaati emingi bwe gityo eginakkusa ekibiina ekinene bwe kiti?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, egiyinza okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa ne bamugamba nti Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?