Matthew 15:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'akwasa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'abimenyamu n'awa abayigirizwa, n'abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atoola emigaati musanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.