Matthew 15:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero musanvu ebijjudde obutundutundu obwalema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne balya, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bujjuza ebisero musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula.