Matthew 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale Katonda yagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda yagamba nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko,’ nate nti, ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda yagamba nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: nate nu Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.